Credits
PERFORMING ARTISTS
Sama Sojah
Performer
COMPOSITION & LYRICS
Waiswa Ivan TonnyI’m
Songwriter
Lyrics
INTRODUCTION.
Boogera binjiiii nnyo Bla Bla Bla, nze nnakoowa dda mwa mwa mwa
CHORUS
Boogera binjiiii nnyo Bla Bla Bla, nze nnakoowa dda mwa mwa mwa X2
[Abantu mwaaguba emimwa]
VERSE 1
Singa baalina obuyinza ku njuba,
Ensoke teyaalinywedde ku nkuba!
Singa baalina obuyinza ku mmere, twandiridde n’amagunju ku ttale.
Nebwetubawa ebitiibwa batujooga!
Bwetubabuulira amazima batulimba.
Batulinnyako abasajja batujooga aah…. Maama.
Ate nga kyenfuba nkole entegeka, nzadde n’abato nneme okweejjusa.
Akaggya obunaku omanyi keemanya.
Ebigambo butwaa oluusi bituga aah…
CHORUS
VERSE II
Lwa Katonda mitima kujitukweeka,
Wanditidde byebatulowooleza nga!
By’akusabira mu mutima butiisa!
Nnyo X3
Nkeera ku makya ekiwagu nkinoonye,
Naye onnemesa lwa nkota!
Nkeera ku maliili akawogo nkayiiye,
Okannemesa lwa nnyama aaah…
Nalina ka business mwaakamalawo,
Mwaakakubamu ebituli nekasaanawo.
Maama w’abaana oluntunulako,
Kimuyungula amaziga n’agamalayo!
CHORUS.
INTERLUDE
VERSE III
Nkeera ku maliili akawogo nkayiiye,
Okannemesa lwa nnyama aaah…
Nalina ka business mwaakamalawo,
Mwaakakubamu ebituli nekasaanawo.
Maama w’abaana oluntunulako,
Kimuyungula amaziga n’agamalayo!
END
Written by: Waiswa Ivan TonnyI’m

