album cover
Sam Wange
21,368
Worldbeat
Sam Wange was released on December 1, 1987 by Uganda Music Publishers Association (UMPA) as a part of the album Sam Wange
album cover
Most Popular
Past 7 Days
03:25 - 03:30
Sam Wange was discovered most frequently at around 3 minutes and 25 seconds into the song during the past week
00:00
00:10
00:50
01:00
01:45
02:20
02:55
03:15
03:25
03:50
04:00
04:10
05:45
00:00
06:04

Music Video

Music Video

Lyrics

Emikwano giba gyakabi Sam kyekyo nange nkyerabiddeko
Kubanga ekibonyabonya obulamu bwange mpulira nkwagala
Maama ekinsagambiza nz'obudde okukya ateera nenzibya
Mpulira nkwagala kufa simanyi kwekiva ye mukwano wankola ki
Bangi abalumizibwa baleke balumwe ate banaddawa
Bulikya nembatuulira nze nemba mu maka ate balimpita wa
Taata nkozze nnyo simanyi kwekiva wulira bwenkudaagira
Ddaali wange
Kimuli kyange akasana akaberyeberye
Omulenze wange
Kimuli kyange akasana akaberyeberye Sam gyali
Maama nakola ntya kulwange ka ngume ate nze naddawa
Wabula ekintu kyendabye nze ntuuse okufa ku lwabo bolina
Bangi abampalanira omulenzi wange naye maama nensirika
Aaa
Mbalaba nga kibaluma kinene
Naye ate nze nsinga
Bangi nnyo abagala Sam
Era nange abangeya
Wadde nga si muntu wa nsimbi
Naye mpulira mwagala
Kaakati twafuuka ba mamba
Buli omu maama awaana yiye
Baleke balumwe bambi
Kimuli kyange akasana akaberyeberye
Omulenzi wange
Kimuli kyange akasana akaberyeberye
Sam gyali
Aaa eee iii
Aaa eee iii
Naye abalindabisa ku lunaku luli
Ku mbaga ey'obugole aa
Kale kibeera kitya nga kuggwe kwendaba nga ate tutudde wamu
Nga bangi abatukulisa ng'era ddala kyekyo nange nkyerabirako
Bulabo obututonerwa nabwo nga kwendaba nga bingi ebitubuulirwa
Nga batukuutira fena tukuumagane mu bulungi ne mu bubi
Oba naawe onjagala bambi
Kiki ekikwekomomya
Kiki ekiryawukanya obulamu bwange okumpi n'obubwo
Oba naawe onjagala taata
Kiki ekikwekomomya
Kiki ekiryawukanya obulamu bwaffe kate nkubuuzeemu
Byonna bisabwa busabwa naffe tusabe nnyo bambi
Naffe tuzaaleyo akaana
Bambi kayite ku maama
Erudda kayite ku taata
Ekirabo kyaffe bambi
Sam wange
Nze nage nkyagala nnyo okufuna ku maka naye nnyabo ebizibu byebingi
Kansabe Katonda ampe
Nga nange bwempakasa byonna ebyo Katonda y'ayamba
Kale kibeera kitya ng'oyingidde mu maka ng'erinnya erimpitibwa lya mwami
Rehema ekintu kyendabye
Towankawanka nga ekyo kyo kibeera kibi ttaabbu
Olina kulinda nnyo at'ogumiikiriza okutuuka wendifunira ensimbi
Wabula mwana muwala teweeraliikirira oyinza okulowooza nti nnimbye
Ensi ekkubye akawuna kawoolere
Taata omundabira nnyo ngenze
But keep our love secretly nkulaba bwobibuulira abangi
Guluma guluma
Omukwano guba gwakabi ttaabbu
Laba nkaaba nsinda
Emikwano giba gyakabi ttaabu
Guluma omukwano guba gwakabi ttaabbu
Kyokka nze nange nkabira mu ggwo nga ggwe
Maama eee
Eri abo abatalina balumwa
Eri abo abatalina balumwa
Nkaaba nsinda
Mukwano guba gwakabi ttaabu
Laba ndaaga nkaaba
Omukwano guluma bubi nkirabye
(End)
Written by: Fred Sebatta
instagramSharePathic_arrow_out􀆄 copy􀐅􀋲

Loading...