Clip vidéo

Crédits

INTERPRÉTATION
Rema
Rema
Interprète
COMPOSITION ET PAROLES
Rema namakula
Rema namakula
Paroles/Composition

Paroles

Nakooye okumira amalusu nange Nakooye okutunuulira abo abalina abaabwe Nebasolobeza nga nze bwensaalirwa Nasobose omugga gw'abaalemwa Nengobera kulukalu lwaabo abawanguzi Kati nange bwentuula mu bantu mpulira njaamu Byona byona byebabadde bansuubiza Ensi n'eggulu olwo nendoba Mbifunidde mu kino etitereke ky'omukwaano Oli wange (Ne bwebananvuma) Oli wange (Ne bwebanankub'emiggo ne bangoberawabweeru) Ngenda naawe Oli wange (Ne bwebananvuma) Oli wange (Ne bwebanankub'emiggo ne bangoberawabweeru) Ngenda naawe Kati mukwano nno tuula ogume okakkane Nze omanyi ndiba wuwo kiro na misana Endowooza n'omutima gwange siribikyuusa Buli wonjagalira mukwano ndibeeraawo wooli Ebikuluma ng'ombuulira nange nkubuulire ebyange Akaseko akalungi ku maaso ago tokamalangako bwooba oli eyo Kimanye nti nange eno gyendi nsigala nkalinze mukwano Oli wange (Ne bwebananvuma) Oli wange (Ne bwebanankub'emiggo ne bangoberawabweeru) Ngenda naawe Oli wange (Ne bwebananvuma) Oli wange (Ne bwebanankub'emiggo ne bangoberawabweeru) Ngenda naawe Njagala tufune ekiritwaawula kubalala abaliyo abeeraga mbu baagalana Nga kumbe bwebadda ewaka babeera mukuwoza misango Tusabe Rugaba atuyambengako ebituteganya abitumenyeremu mukwano Oyo yasinga abasinga naffe bwetumwesiga anatuwanguza Oohh sember'eno (omulungi) beera kumpi Okumpi nange, tombeera bunaayira Sember'eno (omulungi) beera kumpi Oooh, tombeera bunaayira Oli wange (Ne bwebananvuma) Oli wange (Ne bwebanankub'emiggo ne bangoberawabweeru) Ngenda naawe Oli wange (Ne bwebananvuma) Oli wange (Ne bwebanankub'emiggo ne bangoberawabweeru) Ngenda naawe
Writer(s): Rema Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out