Clip vidéo

Galenzi Mwe
Regarder le vidéoclip de {trackName} par {artistName}

Crédits

INTERPRÉTATION
Prince Job Paul Kafeero
Prince Job Paul Kafeero
Interprète
COMPOSITION ET PAROLES
Prince Job Paul Kafeero
Prince Job Paul Kafeero
Paroles/Composition

Paroles

Aah galenzi mmwe entuuyo zigenda obbava Mugira mukanula emmunye Bajja okuziwereba mmula Hmmm mbalaba mutemya musolobeza nnyini Mwekkaanya enkula ey'ebimyuula ebyeyerusa Ah gajja bakongoka mugira mukyatala Abaami baseesa empale, bazitimba essimu Abantu kwe mwepankira baatukiza dda akiri Agenda okuyita daddy, aba alina ky'akwagaza Mwekaaliisa n'empale muziwagika enkoba Abo kwe mweragira, baatunyaga dda empale Ezaabwe ziba ne fly ezikirako enzigi za Gaso Agyepimamu y'aginyuka, kuba y'eggula n'eggala Mubutaboola size zibuzaabuza nkula Mbu beerula figure, kumbe migongo nkaŋa Mukyabayita aba kuno? Mwewaana nnyo bagenda okubasala ensawo Mukenenuka endusu, gasaalirwa nnyini Bino ssi bya mannyo wenu bali tebakyawena Mugira mutangaala, oh lesson mujja funa Eh tuyiiya bayiiya obulwa gw'okyambaza Bankuula dda ewaya, nga nnyambala za ki zzolo Kati bwomuva mu maaso akusooka butiiti olaba Ate bwakuba amabega ogenda oleze ne ka knicker Jaribu asinga awo oba oyoya wa njugu? Ono wa dobolo, kya mpogola n'ekisuse Leero n'atambula ng'enjogera egamba Nebwoneetegereza kiki kyononkola? Basabula bu mini ssimwe mutayiza emmunye Kekalikutanda ne welingizisa olitunyumiza embaga Ffe kati twanjala bibuno ebinnyo baabyabula Kuno tekukyaali kukuula Kiyite kitundula biiso, heh! Mmwe mugakanule munaalaba, eeh eh! eh! Nze kye nalabyeko n'akameeme kankuba Gwe ate ekitereseka n'amatu kuluno tegaawone Nsasira bulenzi buto ku kino kye twalabye Bwo bulisanga kimaanya mirevu baataamye Okuddira obumalirivu okubutega ku kkubo N'obusawo obw'ebbeeyi n'ennyonyi bazirinnya sebbo Era babeera bakakafu mu buli bye boogera Bakyukanya n'amannya awo nga bacanga ennimi Okwatibwa ennaku nga beeyita ba Shedra Mawiiwa ne Clincher, bafunŋŋana ffala Oyo eyabatendeka okupyakupya embuto Gye bujja wa kusomwa mu byafaayo aga nnyabo Eyabatendeka okupyakupya embuto Gye bujja wa kusomwa mu byafaayo aga nnyabo Abasajja bafugise ebibumba by'enkoko Bazibayitira embuto mbu zivuddemu Bazireeta zireenya nnyini Bekyaawa kati oli okulaga baby Oddanga ne mu nsonda ne weekebera oba wa nkizo! Ekigendererwa ky'abantu bano kikyabuze Gwe ate olaba n'enkoko emaamira amagi n'egalula N'ekuza abaana awo abasukka n'ekkumi Eterina na bbeere n'empanga tezigiyambye Naye gwe omuntu ategeera asaba n'emmere N'osuula omwana omu ati! Mugwana kikolimo kibe nga kya njawulo, eeh Mufe nga mulekaana Bafe nga bawuzuuma Bafe nga bawuunyera Kuba buli wantu babekokkola Muzaawe nga muwunya ekko Abantu abo Baatukolerera dda n'ebyo bi sugar mummy Ebikulukulu bijja babuza eby'okola Kikufunvubirako kikwetalako tekinnyuka Naye owange okyagaza mazima bitera oba n'empisa Biba byapowa kiba kyatomera dda empagi Wakati mu kanzunzu awo kwe kutuuza enniya Baba baabizinza enkata eza waggongolo Anti telyanguwa kitalo dyo olulikoonako N'olibuuza nti byonetikka ebyo byo bye waafunye? Mubiweta ekimmooni mumaze okubinywera beer Kubanga wazze ne Sylvia omweyisa sister wo Baalabuse kati ennusu ye okugijja ku wuzi Akulesa byoliko era y'akulaga ekyokola K'obuukabuuka ng'akusibira mu ccupa Obuukira mu ccupa, buli w'odda akukenga very Simanyi oba awo mubeera munfuna Bwoba era tonziga buuza atukiza bye twalabye Leero tuli ku yoleke luno lunaabala Zino bwe ziba machine twazisitama ku motor Ebyana gye byajja obubina esaana kuwaaba mbuga N'obutono obwetereerera n'obuwato obw'ettima Atanayitaayita mutera kutenda bya city Ebyana biri mu kyalo bikkuta emmere Ŋenda okukuba eka enkondo ennene Nsale ebyayi ndukemu omuguwa super Ndijje oludduddu luno ku nkondo ennene Lwe naatambulanga mbe nga kikulekule Abampitako mpunya obukadde Abambuuzaako ssikyabisobola Agafaayo nti mutya nno ab'eka? Olwo nsigale ng'atakyalowooza Nga mbaanukula ng'abisoma mu bitabo Bannange amaddu ago byokya by'ebivumula Leeka mbabuulire tuli ku kasandali Kuba n'abafumbo bennyini Tokyawula na wa bbule Ne bwaba wa mpeta ebyo bikoma wa Kabona Ba mpakasa gindi tomulekaawo week naatakikwambaza Wulira bw'asuubiza Ndawusi ow'ebbali Mbu hmmm! Ebiseera bino mw'onjagalira nga ssi birungi Nno munnange Mpozzi linda mmale kufuna lubuto Awo kijja kubeera tere Era ojja kunfuna very Wulira eddenzi bwe lyanukula Bwe liwewa endago Nti olwo naakimanya ntya nze? Ofaayo ki? Mbadde wooli Nange wendi Ffembi weetuli Wooo wo Mulabye bwe mugenda mweramuliza amakiro Wooo wo Ng'asuula wali akaana ng'ayagala okalya Mmwe nga mujja muliyita eddogo lya baggya be Musajja wattu nnyinimu laba asamba ensiko Byempitwabirezi bikyabuze Nga lu Ndawusi kazaalabulwa luli eri lukomba beer Ebisinga obakoza ensobi ezirirangirwa n'omuzzukulu Gabeera mabinu eby'ekiyita mu luggya eby'empewo Nabalabanga eyo nnyo nga tutayiza endeku Ng'oli yeetamiiriza mu byafaayo byennyinyi Mbu jajja wo kye yava alyalya nnyoko Oba oluusi kaamugaana, alangira ka nannyabo Kalibe ggwanga ki ebintu ebyo teri gyebiriwoomera Nebwenfanga mbaleka ab'e Bweya n'e Bule Eby'amasanyu bino kwogatta eby'enfuna Oluusi ebitali na muno bitufuula ebitakyanoga Ebyana ebyo ccupa emu eti eya beer Emukwata n'alayira Kagugula, bwali Uncle Money Nze namulabako mu maaso ga bba, eeh! Teebereza ebibadde eyo Bannange amatumbi g'obudde Bwe buba bwana tukyazaala Nga bwetwalulira ne bannaffe Teebereza ebibadde eyo Bannange amatumbi g'obudde Bwe buba bwana tukyazaala Nga bwe twalulira ne bannaffe Bwegaba masannyalaze gagenda kubalaga enkola Mubalaba kumyusa mimwa mugiyita mirembe ddala Bajja kutumegga batulume n'oluma Okugwirana ssi kulungi twebuuzengako Batutwala nga balabe era tebatwagala Byakufunyemu ayagala bibeere byaama bye Bwatakufunamu by'ebidaala okugwa n'embaga Lutalo lyennyini Kana n'akataano ojja kanuka olaba Ebyo bye musaalirwa ffe tulabye ku bantu ssebo Nze ssikyetungula banneeriisa dda enkuta N'akabiri ne kambula nga bo bayiringula gakolo Obwana bunneme okusomesa munvume Ngaba ez'enviiri okola ngula obukondo obw'ebbeeyi Kipya ki kye nkyanoonya ofukamira ku nkato Banammansira ne acid, laavu ey'ekirwanire Bye mwajjanga mwekulubeesa sirina kye saalabye Kati nvaako nkumbu, ndi mukodo asiri Ze mwalya zammala sikyagaba nnuthu N'engeri gye ngyatulamu eraga bwe njagala Era bwe mba ngyatula saagala kugwe na dduthu Terigiseereza ne mbulako ŋamba thilingi Giyite enthimbi Era bwe nkomba ku lugalo nga ngibala ennuthu Ninda ne lumala kkala Ne ndyoka ngikuba akiba Ez'ejjenjeero mwaziwemmenta Mwazimmala mu nsawo Ebyana byeyiringulanga n'olaba embaga Baazikunkumula musennyento gwennyini Kati ebyo bye mwebigula twabiraba dda Bye mweweweeta byonna byeweweetemu Bye mwekuuta baabyekulukuuta dda Kanve wano tebankuba eccupa omanyi bakambwe Leka mbeetegule sirina galwaana (yeee) Ŋenze kulya cover Bukunja (Bukunja) Tebankuba eccupa omanyi bakambwe (bakambwe) Leka mbeetegule sirina galwaana (wuuu) Ŋenze kulya cover Bukunja (yeee) Eyo ewaffe, eyo (Bukunja) Leka mbeetegule sirina galwaana (bakambwe) Tebankuba eccupa omanyi bakambwe (wuuu) Ŋenze kulya cover Bukunja (yeee, Bukunja) Leka mbeetegule sirina galwana (bakambwe) Tebankuba eccupa omanyi bakambwe (wuuu) Ŋenze kulya cover Bukunja (yeee)
Writer(s): Paul Job Kafeero Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out