गाने

Olumu ebintu bya Mukama Bino nabyo bibuzaabuza Eri abatamumanyi bambi Bibalumiza ddala omutwe N'amala ayogera enkola ze Omera ne kanzunzu mukwano, aah Olumu bibuzaabuza Olumu ebintu bya Katonda Mikwano bibuzaabuza Eri abatamumanyi bambi Bibalumiza ddala omutwe N'amala ayogera enkola ze Omera ne kanzunzu mukwano, aah Olumu bibuzaabuza Akulaga ekisenge n'akugamba nti waliwo ekkubo Akulaga eyazeeyuka nti mulimu abaana mu nda ye Akutwala ku nnyanja nti w'ewali erigenda ewammwe Eeh eh, kale naatakuwa lyato Akulaga namwandu n'akugamba oyo nze bba we Agamba londa ejjinja okube Goliath Ayenga amalusu mu nfuufu n'akolamu amaaso Kale ebintu bye Yakuwa Olumu bibuzaabuza Omwami yagenda eri Yesu nga mulwadde Nga yaziba amaaso Yesu n'amubuuza nkukolereki mukwano? Kyokka ondaba ndi muzibe naye ate ombuuza! Kale ebintu bye musawo Olumu bibuzaabuza Yesu n'akwata enfuufu n'assaamu amalusu Bwatyo n'abisiiga ku maaso g'omuzibe Awo ne wabaawo omusawo amukuba n'oluyi Yesu olina ogutima! Amaaso ga munno laba n'akalaba okasse Kuba amateeka g'obuyonjo mu nsi yonna ge gamu N'omala olwala amaaso gakuume mayonjo Gula ne galubindi tekugendako enfuufu Laba ate omusawo Yesu asiizeeko enfuufu Yiii ebintu bye Mukama! Olumu bibuzaabuza Munnaffe eyanona amaaso yaddayo anyiize Omusajja aliko ogutima! Amaaso gange laba n'akalaba akasse Yesu n'agamba omuzibe Gwe naaba amaaso vva mu ebyo Muzibe n'amala gagonda n'anaaba amaaso Okuva mu mugga muli laba ng'alina amaaso! Bonna abaasoma obusawo awo we baakoma Bwe baali basoma Ekyo tebaakibagamba? Nti enfuufu n'amalusu mubaamu amaaso? Kale ebintu bye Mukama Olumu bibuzaabuza Munnaffe eyanona amaaso yaddayo asanyuse kuluno Oba katugambe, yaddayo awunze Mu nfuufu mmwe yazannyiranga mwalimu amaaso! N'oluusi yawandangamu amalusu nga tamanyi taata Nti ku maaso ge Kwawanda amalusu N'atuuza eŋanda ze n'aziwa oluyimba Nti nsanze omusajja Atema ewatali kkubo Nti nsanze omwami Atema ewatali kkubo Nti nsanze omusajja Atema ewatali kkubo Nti nsanze omwami Atema ewatali kkubo Jjuuzi nafunye akakisa akatuula mu nnyonyi nange Okusooka Musumba Sennyonga nali manyi asaaga Okukwata omuntu owo kasasiro omutuuze mu nnyonyi! Mikwano, nali manyi asaaga Natuula mu nnyonyi, nali manyi ndoota Nagiranga ne neesunangako Bwe mba ndoota nsisimuke Kale nina oluyimba Atema ewatali kkubo Olwo ne nzijukira bato bange abaafa Mu nnaku ennyingi Siriimu yaluma Denis awataali ssente Nga tannafa, nzijukira lwe yampita N'ambuuza Bugembe lwaki twazaalwa? Okuzaalibwa ne siriimu nze atazza musango N'aŋamba ka nfe ŋende eyo ewaliba essanyu Kasita maama ne taata gyebali baatusookayo N'aŋamba nkimanyi naawe essaawa yonna ojja kufa Ebiseera ebyo, nga siggwaako galwadde Hmmm, bwe yamala n'afa Denis yandibaddewo n'alaba bino Omwana oyo yandibaddewo n'alaba bino Ku luguudo kwe nasabirizanga Kwe nvugira emmotoka leero! Nina oluyimba Atema ewatali kkubo Yandirabye ku Musumba Sserwadda ng'ankwasa ebirabo Nina oluyimba Atema ewatali kkubo Abuusabuusa Mukama labira ku nze Ani yali amanyi nti ndiva mu kasaati aka yellow? Ani yali amanyi nti ndiwona engatto ez'ebituli? Ani yali amanyi nti ndiwona okaabira abaafa? Ani yali amanyi nti ndikoma okutambula nga nsamba ebipapula? Nonde ekikumi! Oli mukulu Mukama Oli mpologoma ya Yuda tewali akwenkana Oli kikolo kya Yese gwe ayamba abaavu Olaba ojjukira nange ensi gwe yasuula! Nina oluyimba Abaavu muddemu essuubi mugume Nina oluyimba Atema ewatali kkubo Abuusabuusa Mukama labira ku nze!
Writer(s): Wilson Bugembe Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out