गाने

Walumbe Zaaya atukola bwati Bakaabasajja b'otugumbula otyo Oli wa ngeri ki atayisa balungi? N'abessimbo n'obafaggyiya otyo! Laba bw'olekawo ab'emitwe emiyaaye Oli wa ngeri ki atamanyi bateefu? Onkutulidde ne guitar nsula nkuyimba Komaaniina ogira okubulwa w'osula Oli mubbi nnyo mundeke mulangire Gwe ate tunaayogera ng'abali e bukoddomi? N'owulira enduulu n'emiranga maama N'abagagga abasikambula mu ma benz Laba obwa mulekwa bwe bwefuze Obuganda! Lwa ttima olutulesa amabujje Ne lufaakuuza n'abali e buziizi Ne lulindiggula n'abali mu bire eyo Lwa ndasi lulya n'abava e Bulaaya Omutemu awenja ne mu nda z'abakyala N'akunyuulayo n'obutonda maama! Ate takuba miss n'obugi abugaaya! Nkugambye luzibu tulya nalwo eka Ne mu bifo awasanyukirwa luli eyo kyema Luli mu nguuli gye twekeserera eyo Kale luzibu olwetiba atamidde Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye Kitalo Kitalo nnyo kitalo baana battu Kitalo Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye Kitalo Kitalo nnyo kitalo baana battu Kitalo Kitalo, kitalo woowe woowe Kitalo Kitalo nnyo kitalo baana battu Kitalo Kyokka ggeteggete ssebo Walumbe Nze luntunuza ng'atali musajja Gwe atalina guitar wa gy'olaza abayimbi? Bosomba obuliza etali siteegi Aba reggae n'aba Bossa nova N'aba Kadongokamu n'otugattika otyo Ssebo gy'otutwala tetuli butuulo Emagombe wala eyo etava kalungi Na bonna be yetwala mpaawo alidda Bali mu bibululu etava ddoboozi Eyo mu nzikiza ewatali ttawaaza Nange Paulo gye ndaga ewala eyo Mu ttambiro ly'eyo ewabunye entiisa Era y'ewaabulira n'owuwo omulungi Ky'ova ondaba nkuba guitar ngayaala Na byonna bye nkola tebimpa maanyi Bannange essaawa y'okufa eriko ebibuuzo Ate ne byanukulwa bityo engeri entamiivu! Ky'ekitawaŋŋanya nange eyalya amabanja Ebirinjogerwako awatali kuwuuna Bwentyo ne neewunika ne mba ng'omukyawe Ani alinjulira ndiba nziyidde oh! Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye Kitalo Kitalo nnyo kitalo baana battu Kitalo Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye Kitalo Kitalo nnyo kitalo baana battu Kitalo Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye Kitalo Kitalo nnyo kitalo baana battu Kitalo Lusika abanene ababunye ebitiibwa Ne lukkalira lubuukulire ng'omwo Ab'emibiri egyeyiwaayiwa abo Ssebo bonna telubatiisa maaso! Lubawereba puleesa n'alusa oyo Ne basindogoma n'olutya lusajja! Ne luyingirira n'amaka amalungi Ne luleka ebifulukwa ndifa ndulojja Eyo ewajjanjabirwa eno ensi yafa dda Balala lubazingirako waka eyo Lwa ttima olutwenyaza mu baana N'ofuuka ekyenyinyalwa bwotyo Leero n'ofa ng'oweddemu omuwendo Kw'ogatta n'obulumi obw'ekika ekiboofu Lugaba n'emitima egy'ekinyanya mwattu Mu bantu bannaffe be tunyumya nabo abo Oli n'akusanjaga awatali kutyanamu Naatakubya ngeri ki gy'olekamu mabujje! Oluusi omuntu ng'oyo abeera n'ababe eka Gwe ababo ne baba ng'abatali baana Abagumba b'emitwe abo bantama nze Abatusuza twaziirana mu miranga Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye Kitalo Kitalo nnyo kitalo baana battu Kitalo Kitalo, kitalo woowe woowe Kitalo Kitalo nnyo kitalo baana battu Kitalo Kitalo, kitalo nedda nedda Kitalo nnyo Kitalo nnyo kitalo baana battu Kitalo Labayo ab'ensusu embi bo abatiini Basinduka baweddemu omuchuzi Abalungi n'ababi bonna abagasse Njagala ndabe ku lulimi lwa Walumbe Olwo olugattika ebikaawa n'ebiwoomu Oba Mabiriizi lwamulya ngayadde! Ndowooza lwa nniimisa ntamidde Munnange omuto eyali amanyi okuyimba Ate nga nange lummanyi eddoboozi Kale kyenva nnumira mu bye ntera okuyimba Tulabye n'obulumi obutagenda kuggwa Kino kitalo nnyo kitalo baana battu Afazaali singa abazaawa badda Ne batubuulira bwefaanana ewala eyo Abalenzi abaali ab'ebitiibwa Bonna lwa bayuza amasuuti Luulwo ne mu byana by'abagagga Lukonjobola ng'olusa obuwunga Lwa ndasi lulya n'amanyi Oluzungu Teluliiko musomi na mukaafiiri Eyo ennyanja lwagimalamu obukejje Naye ate nze aweramu guliivi oh! Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye Kitalo Kitalo nnyo kitalo baana battu Kitalo Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye Kitalo Kitalo nnyo kitalo baana battu Kitalo Mulabe obwama bwe bwefuze abateefu Beekengera zzisabusolo oyo Twegeya tuli ku mabbali awo Baka banene nze mutya okubaasa Kyokka bw'olowooza okufa nga weenyazenyaze Kufa bwe liri tteeka n'oyoya ekikutuko Mpaawo n'asobola kwawula mu nfa ye Wabula twekanga lumaze okutuuka Buli omu n'engeri ye ne bw'eba ya kikangabwa Mpaawo musanvu gy'ekitega maama Nazaala wange ye ssinga amusonyiwa Anzaalira omukuuma ka omulungi Owange mpa oluguuli nnywe ndabe gwe Abawoza kiki agunywa engeri eyo Kati olwo nnywe petelooli nze atali mmotoka? Oba mu mmotoka mwe baba bayiwa enguuli? Nze ssiwubwangako kuva ku ndeku awo nedda Oyo aneenyinyala angobanga ewuwe eka Mwenge gwe gutuga abafa ebikutuko? Oba gwe gutilimbula obuva ku mabeere? Ye gwe atanywa olifa otya nkubuuza? Leka nno bajje bakkube ogubundu Olyoke omanye bwe tutudde mu giraasi Nti ziizino zafuuka miggo buggo Eno ensi okugyamuka n'entaayi tesala Nze ndeka ne miima lunzita ntamidde Luno lulya n'obukazi obutanaaba maaso! Lwamalako telweganya bicaafu yiiyi! Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye Kitalo Kitalo nnyo kitalo baana battu Kitalo Kitalo, kitalo yaaye yaaye Kitalo Kitalo nnyo kitalo baana battu Kitalo Kitalo, kitalo woowe woowe Kitalo nnyo Kitalo nnyo kitalo baana battu Kitalo Lufumbiikiriza abakola entegeka Bwe lubasanga mu makubo tebadda waabwe Kati ku mpya ludibizaayo abalungi Ne babula anyeenya luli olutyanga Labayo ennaku bwe yeefuze abasajja Okuyita mu makubo ng'abatalina maaso Luno lutwepankiddeko nkugambye Okufulula abamanyi Oluganda Ebirungi lutubiresa awo, ha! Naye kale Mukama bwatyo Ne lusattulula abafumbo abalungi Omwagalwa wo n'aserengeta ewala eyo N'osigala ku bwa ssemwandu bw'otyo Ofunda n'obwa luli naye ate obwa luno Ne lusiikuula abaateesa obulungi N'olaba amatemu bwe gayitiŋŋana awo Obugumba n'obuwuulu byotatya gwe? Bye lusibye mu mayumbe g'abasajja Luwalampye n'e Makerere mu bagunjufu Diguli luzibalese emitwetwe Kyokka ayi Mukama olina obusungu Okutuliyisa essango eritazzibwa ffe! Jajja w'olulyo eyasobya gy'oli Gwe wandibonerezza n'okoma okwo Naye ffe kaakano tulinga baana Abataamanya kyaliwo okusooka Ssinga lulya nguzi awo kyandibadde wadde Nange nandipakasizza ne ngulirira Labayo ezaali entumbwe z'abalungi Giringa minyolo gya bu namunjoloba Oyo tolaba enkompe mwatunuulira kati Ssebo bonna baali bantu ba muwendo Ab'embuto ezibooleka ebisente Basongodde lwabaganzika eyo Kye twalya twandikizizza gye kyava Okusinga okuziraga tuti Ye ne bwe n'awoloma emiti okukuuka Mpaawo kirikyukako yarabbi Mbasiibudde nsaasira abalwadde Mukama waffe abaŋŋumize bambi Ne nsabira n'abali ku lukuusi Ddunda abawe ekiwummulo ekirungi Olusibira mu bbwa luno ndifa ndulojja Luzibu nnyo lukambwe baana battu Olusibira mu bbwa luno ndifa ndulojja nze Luzibu nnyo lukambwe baana battu oh! Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye Kitalo Kitalo nnyo kitalo baana battu Kitalo Kitalo
Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out