Songteksten

Lutalo Nabonaabona nnyo nnyo Kuva lwe nayingira mu nsi Nga mu by'okulya muwogo gwe manyi Mbu nazaalibwa n'ekintugumbula Era maama takakasa oba ddala yenze Ataava ku kitanda mu buto! Mbu namalako emyezi mukaaga Nga ntemya butemya bwenti siwummuza Abasawo ne bagamba nnemye Ne taata gye yali akola Omulimu gwaggwaawo n'atuuyana Abakulu n'abato maziga kwetukeerera Seeyagala mu buto bwange Era ne bwe mbadde nkula Nga lwe nkeesa maama lwe mbala Nga ntunda tunda bundaazi Taata bwe yasiikanga nsome Tufune n'ezakamere ewaka Ng'olumu babubba bambi Ne nkomawo nga maaso ge nteze Muzeeyi n'ankaliga obuti Mu bugoye obusensufu Ng'empewo bw'ezze era bw'empitamu Nava wabi nnyo nnyo oh Mukama olina amaanyi oh Both Tewali nnaku ya lubeerera Ku bye ndabye bwentyo bwe ŋŋamba Kasita weesiga Mukama Obaako n'emirembe Tewali nnaku ya lubeerera Ku bye ndabye bwentyo bwe ŋŋamba Kasita weesiga Mukama Obaako n'emirembe Bugembe Hmmm! Owa! Mukama olina amaanyi! Hmmm! Owa! Mukama olina amaanyi! Nzijukira e Masaka mu kyalo Twali buto nga tuzannya Ki kawumpuli gye ky'ava simanyi Kifuule ewaffe eddwaniro Oyo mummy lwamutwala Ne daddy lwamutwala Ne buto bwange obutalina ttaabu Yiii nabwo lwabulya Twasigala tutyo ttayo Awatali muzadde alabirira Ne nsigala nga mpuuna buwuunyi nti owa! Eyalwala siriimu yali omu Y'eyasiiga ennyumba yonna Hmmm! Dawudi mbuuza nti atya? Empiso y'ewaka yo yali emu Gye bafumba bakubisa omulala Twali baavu ebyo bwe mbijjukira hmm hmm Naye waliyo Katonda Asobola okyuusa embeera Kati laba nzuuno nnyimba ne Dawudi Mukama olina amaanyi Lutalo & Bugembe Nkuyita ssebo Katonda nannyini nsulo Omutemi w'amakubo Oh hoo oh oh Ne bw'oba ku zero Mwekwate mulwanyi wa ntalo Alikufuula hero Musabe Addamu essaala zaffe (zaffe) Muyita musumba wange (wange) Katonda wa taata wange ne mmange Kati nno munnange nkugamba Ofune eky'okkola ogezeeko Webikalubye obikwase Katonda Kabibe bigumu Yesu abigonza Abigonza Yadde tolina biwaawatiro Yesu alina amaanyi Ajja kkuwa ebiwaawatiro Obuuke hmmm Olinoonya abaasekanga (abaasekanga) Abaajerega abeeyita abalogo (abaaloganga) Ggwe siga nsigo ozifukirire Olinde olinde Ennyumba yo eriba ya mukisa (ya mukisa) Olisanyuka ne bw'oliba e Mulago (e Mulago) Musabe omukisa akufukirire Oyimbe baswale Teri teri teri Oh oh mwesige Teri teri teri Muwe obulamu bwonna
Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out