Songteksten

Ebitubaako,birumya emmeeme, binyiga,ngojula kwetuga Ensi nefunda,bwetyo n'ekaluba newetamwa newebuuza walyaki Ng'oli awo wekka bwomu bwoti weegomba,ofuneyo akufaako Naye ekibi, bano bantu bannaffe bwalaba nga waggwaamu ngakwewala Ssuubi lyange nditeede mwoyo katonda wange atandekerera Entalo zange zonna mwendi katonda wange yanazinwanira. Oyo yantegeera ebyange gwembikwasa nnawummula ebya stress nembita Oyo gwembikwasa kubanga yantegeera nnawummula ebya stress nembita Oluusi wewaayo ofube okusanyusa abalala, neweelumya olwokuba omwagala Bwotyo nositula emigugu gyebandyetisse babuwe olwomutima omwagazi Mutima munda nolowooza,nolowooza nti okoze ekitundukyo, kyebalijjukira Okwandibadde ngokusiima,bazza bukyaayi newenyiwa kale Toga n'abantu tunuulira Oyo byokola abisiima olifunamu empeera Tokoowakoowa okukola obulungi,katondawo ye ebyo byokoze abisasula Kisaananyo,okuba omwetowaze mubyokola kwossa nobwesigwa Osonyiwanganyo eri abakunyiiza,basembeze togeza kubeewala Tomanyi nabyankya bwebiriba ebyo olwaleero akujeeza enkya oliba mukamawe Towooleranga nebwaba bingi byakkoze mukwase katonda yanaamuwangula Mutima gwange tegeera ekyo kuuma kitiibwa kyo olifunamu obuwanguzi Kkakana munsi gulumiza oyo katonda yekka yanakuyimusa
Writer(s): Segawa Andrew Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out