Lyrics

Oooh oh ooh Eeh ah my Uganda Watandika ddi emize emikyamu? Uganda apaana nedda! Mukwano gwange gwe manyi obulungi Uganda nedda tatta Ebyo byambe by'ani by'owagaza obusungu? Akuwaga ani akulimba? Gwe wakuza maama wange ne taata Ne ba jajja gwe eyaboola Watwagala nnyo watulabirira Ng'okuba yenna atuŋŋoola Yeggwe gwe tumanyi totwefuulira nno Tugambe kiki wanyiiga? Oh bambi sorry! Suula ebyambe wansi obusungu bungi Oba ssi gwe oli Owange gwe manyi ono emitaafu mingi Twatandika ddi okweteekera kamyu mu doodo? Ensi yaffe ssi bwetyo Mu mazima kuva ddi nga tusalagana nga nkoko? Ensi yaffe ssi bwetyo Ndowooza twesulika UG bw'eti ssi bwe yali Ensi yaffe ssi bwetyo The Pearl of Africa Kati ejjudde mpisa embi Ensi yaffe ssi bwetyo Kuva ddi nga tuli batemu? Ki sitaani otulya ng'amapaapaali? Kati tuttiŋŋana nga mbwa Oba Uganda yavaawo nga tuli wandi? Eyatuloga simanyi ani! Empisa okucuuma ng'ekyolooni Gwe avaabira ekindaazi Menyako akatono okaweeko oli Wano akaaba tumusirisa Obutemu busigaze bali batelebaani, eh Y'asala munno obulago N'amala ne yeesiigako akazigo Twetegera ki amalobo? Eeh Kuno bwe tutyo ssi bwe tweyisa Ebyo bintu by'eri bunaayira Tusonyiwagana ng'era ba kika Tetuwambagana tutyo kijambula Twatandika ddi okweteekera kamyu mu doodo? Ensi yaffe ssi bwetyo Mu mazima kuva ddi nga tusalagana nga nkoko? Ensi yaffe ssi bwetyo Ndowooza twesulika UG bw'eti ssi bwe yali Ensi yaffe ssi bwetyo The Pearl of Africa Kati ejjudde mpisa embi Ensi yaffe ssi bwetyo Okumanya ekitugoba kitabuse N'abakazi baddukayo mu biyungu Twewaze nnyo nnyo Mungu Ndowooza n'asitula obusungu Twebunyizza ebiwundu Ki twetemamu ebitundu? Buli lwe wabaawo ekitabuse Tewabula gwe twekwasa nti gundi Naye tugambe ani ku luno? Nga ffe tukubagana obukumbi Oh oh oh my lovely Uganda Guluma nga kati nkolooto Oh oh fire twokya guno mugomyo Buli omu funa ku tuzzi weeyiweko Naaza enziro kyuusa enneeyisa yo Oh oh mama nkolokooto Oh oh fire twokya guno mugomyo Buli omu funa ku tuzzi weeyiweko Naaza enziro kyuusa enneeyisa yo Twatandika ddi okweteekera kamyu mu doodo? Ensi yaffe ssi bwetyo Mu mazima kuva ddi nga tusalagana nga nkoko? Ensi yaffe ssi bwetyo Ndowooza twesulika UG bw'eti ssi bwe yali Ensi yaffe ssi bwetyo The Pearl of Africa Kati ejjudde mpisa embi Ensi yaffe ssi bwetyo×2. Double Kick Yaled Davi Lutalo
Writer(s): David Lutalo Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out