Lyrics

Gyal gyal Gyal gyal Mu Lubiri lwo Mwe nsaba obutuuze Aya baasi Tuula, ndowooza bye nkugamba hmmm Era ndowooza, oba nkusoonseke akanamba Naye ntiddemu, abakutuukako bangi bava mu mawanga Kati nze Kasadha waabwe, baaba Nnyabo bw'ompa omukisa Ngya gukozesa ogwo omukisa Mungu bwampa ekisima Ngya kulaga laavu amazima Nga ntereeza, sigaana eih aah Nze nviira Jinja Nedda baaba, ssi Lweza Naye nsaba butuuze Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano Mwe nfunira emirembe Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano Wano wano Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano Nze mwe nsaba obutuuze Ngya kukuuma nga bambowa Ngya kutambuza nga Kimbowa Empisa embi mwattu zaabula Ewange zaabula Ye maama nyabula Nze n'ompa olunaku ndukozesa Ne bweriba dakiika ngikozesa Yadde katikitiki nako ndikakozesa Kannyiikire kusaba Omutonzi awulira Ndowooza luliba olwo luliba Mu Lubiri lwo n'onnyaniriza Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano Mwe nfunira emirembe Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano Wano wano Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano Nze mwe nsaba obutuuze Kikooyi, Gomesi byonna birabo byo Kyonompa kyonompa ab'ewaka balabeko Bwoba tolina tewali buzibu kasita nkulabako Smile yo eyo kasita ngirabako Birooto nfuna, birooto nfuna Ne bw'ontuma okola nze mwattu bye nkola Birooto ndaba, birooto ndaba Nkuloota onneetegereza nga kati bw'okola Oba bye ndoota by'ebituufu Nkusaba obifuule ebituufu Oba bye ndoota by'ebikyamu Awo nandiba nga nz'omukyamu Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano Mwe nfunira emirembe Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano Wano wano Mu Lubiiri lwo mu Lubiri lwo wano Nze mwe nsaba obutuuze Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano Mwe nfunira emirembe
Writer(s): John Kasadha Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out