album cover
Ninze
1,242
R&B/Soul
Ninze was released on May 9, 2021 by Ntaate as a part of the album The Best of Ntaate - Single
album cover
Release DateMay 9, 2021
LabelNtaate
Melodicness
Acousticness
Valence
Danceability
Energy
BPM71

Credits

PERFORMING ARTISTS
Ntaate
Ntaate
Performer
COMPOSITION & LYRICS
GABRIELLA BRIDGET NTAATE
GABRIELLA BRIDGET NTAATE
Songwriter

Lyrics

Embeera y’abantu yewuunyisa
Otunula n’ogamba Mukama
Nsonyiwa okwemulugunya ku bye sirina
Ng’eriyo atalina na ky’alina ng’ate
Amanyi n’okumusinza ng’era
Amanyi n’okumugamba weebale
Kasita ndi mulamu
Eriyo atalina na ky’alina
Ng’ate, teyeerabira Katonda
Ng’era amanyi n’okumugamba ninze
Nsaba osonyiwe
Obutali bugumiikiriza bwange
Kanninde, ababonaabona eyo
Be bangi okunsinga
Nsonyiwa Mukama
Okwemulugunya ennyo bwentyo
Ninze, aah ninze
Nsaba osonyiwe
Obutali bugumiikiriza bwange
Kanninde, ababonaabona eyo
Be bangi okunsinga
Nsonyiwa Mukama
Okwemulugunya ennyo bwentyo
Ninze, aah ninze
Singa yali asobola okubikkulira ebintu
N’akulaga atalidde
N’akulaga n’abo abafudde
N’akulaga nti bonna era baliwo ku lulwe
Nti mulimu by’akuwadde
Omulala ye byatalabye
N’akulaga nti gwe ky’onaalya
Olwaleero kibeewo
Kyokka n’akulaga nti mulimu
Gw’abalidde mu lw’enkya
Naye ng’eriyo atalina na ky’alina ng’ate
Amanyi n’okumusinza ng’era
Amanyi n’okumugamba weebale
Kasita ndi mulamu
Eriyo atalina na ky’alina
Ng’ate, teyeerabira Katonda
Ng’era amanyi n’okumugamba ninze
Nsaba osonyiwe
Obutali bugumiikiriza bwange
(Hmmm Mukama nsaba onsonyiwe nze)
Kanninde, ababonaabona eyo
Be bangi okunsinga
(Hmmm Mukama kanninde)
Nsonyiwa Mukama (Nsonyiwa)
Okwemulugunya ennyo bwentyo
(Mukama nsonyiwa)
Ninze, aah ninze
Nsaba osonyiwe
Obutali bugumiikiriza bwange
(Taata we nsobye sonyiwa)
Kanninde, ababonaabona eyo
(Oh, kanninde kitange kanninde)
Be bangi okunsinga
Nsonyiwa Mukama
Okwemulugunya ennyo bwentyo
Ninze, aah ninze
Nsonyiwa Mukama
Okwemulugunya ennyo
Ninze, ninze
Written by: GABRIELLA BRIDGET NTAATE
instagramSharePathic_arrow_out􀆄 copy􀐅􀋲

Loading...