album cover
Jangu
344
Worldwide
Jangu was released on October 28, 2022 by Bridge Music as a part of the album The One
album cover
AlbumThe One
Release DateOctober 28, 2022
LabelBridge Music
Melodicness
Acousticness
Valence
Danceability
Energy
BPM84

Credits

PERFORMING ARTISTS
Lilian Mbabazi
Lilian Mbabazi
Lead Vocals
COMPOSITION & LYRICS
Saxes
Saxes
Songwriter
Kalema Isaac
Kalema Isaac
Arranger
PRODUCTION & ENGINEERING
Danny Beats
Danny Beats
Producer
Kalema Isaac
Kalema Isaac
Mixing Engineer

Lyrics

Eh yeah, yeah, yeah (kwata)
Oh, ooh
Gw'alina omukwano ogutukiride
Nze nkwagala mu bulamu bwange
Gwe mulungi gwenjagala
Njagala obe wange nzeka
Jangu, jangu eno gyendi mukwano
Jangu, jangu eno gyendi kabite
Mukwano sikuwana, bino byenjogera biva ku ntobo ya mutima
Si katijo si kajanja, mpulira ddoboozilyo omusayi ne gutambula
Sinyumirwa nyo ku gamba, naye buli lwe sikulabye omutima gujula maziga
Nabuli lwentunula, mba ndaba kizikiza
Ekitangala kyange wakiwamba
Kati mukwano kyensaba
Tovanga kulusegere
Tube ng'enswa, zebayita ensejere
Nga buli we mba, nga nawe bwotyo wobera, eh
Kati mukwano kyensaba
Tovanga kulusegere
Tube ng'enswa, zebayita ensejere
Nga buli woba, nga nange bwentyo wembera
My sweet baby
Gw'alina omukwano ogutukiride
Nze nkwagala mu bulamu bwange
Gwe mulungi gwenjagala
Njagala obe wange nzeka
Jangu, jangu eno gyendi mukwano
Jangu, jangu eno gyendi kabite (mmm)
Gwe kasana akokumakya
Gwe nsulo z'omubisi ogukulukuta
Buli lwenkulaba nensegamiza
Nebibade binyiga, olwo nebikutuka
Kati mukwano mbulira
Oba nga nawe kyempulira okiwulira
Oh, baby nkakasa, oba nga kyendowoza kyekikuli munda, eh
Mukwano mbulira, oba nga nawe kyempulira okiwulira
Baby nkakasa, oba nga kyendowoza kyekikuli munda
Kubanga
Gw'alina omukwano ogutukiride
Nze nkwagala mu bulamu bwange (nkwagala mu bulamu bwange)
Gwe mulungi gwenjagala
Njagala obe wange nzeka
Jangu, jangu eno gyendi mukwano
Jangu, jangu eno gyendi kabite
Kati mukwano sembera
Abo abakubuliira ebiwanvu, tobawuliira
Manya nti gwe wawangula
Akalulu komubiri gwange, nomusayi gwange
Ntobo, y'omutima gwange
Ofuuse kitundu mu musayi gwange
Nsaba, ne mukama tuzale
Akaana, akatufanana tukayite ne linya
Ntobo, y'omutima gwange
Ofuuse kitundu ku mubirii gwange
Nsaba, ne mukama tuzale
Akana, akatufanana tukayite ne linya
(Tukayite nelinya)
Oh ooh, ooh yeah
Oh oh-oh oh yeah eh
Gw'alina omukwano ogutukiride
Nze nkwagala mu bulamu bwange
Gwe mulungi gwenjagala
Njagala obe wange nzeka
Jangu, jangu eno gyendi mukwano
Jangu, jangu eno gyendi kabite (yegwe)
Gw'alina omukwano ogutukiride (yegwe)
Nze nkwagala mu bulamu bwange (yegwe yeah yeah)
Gwe mulungi gwenjagala
Njagala obe wange nzeka
Jangu, jangu eno gyendi mukwano
Jangu, jangu eno gyendi kabite
Written by: Saxes
instagramSharePathic_arrow_out􀆄 copy􀐅􀋲

Loading...