Lyrics

My people, people of the land! Abazzukulu nabagamba ntya? Abazzukulu nabagamba ntya? Oluzzi olwali wano lwalaga wa? Omuzzukulu bwanambuuza ekibira ekyali wano kyalaga wa? Namugamba ntya? Munnyonyole ntya sente ezimulwanya zezasaaya ekibira Munnyonyole ntya kibuga kiramba kyekyaseenza entobazi Zaseenga wa? Baziteesako mu lukiiko zisanyizibwewo bagule emmotoka Mwalimu n'okukaaba n'okusomoozebwa kwa bakuumi b'obutonde Nnyaffe munyiivu My people, people of the land! Abazzukulu nabagamba ntya? People of the land! Abazzukulu nabagamba ntya? Kamese tambula, kamese tambula Omuti ogwali wano gwalaga wa? Kamese tambula, kamese tambula Oluzzi olwali wano lwalaga wa? Kamese tambula, kamese tambula Entobazi ezaali wano zalaga wa? Kamese tambula, kamese tambula Obuntu bulamu bwalga wa? Let us take responsibility Let's awaken nature Ebiro bikyuuse Enseenene zikulukutidde mu bitungotungo Nga bwekyali mu ntandikwa Buli aseenga watalina kubeera wakuvumbagirwa Abazzukulu baakusasula, amabaanja ga bajajja baabwe Kamese tambula Obuntu bulamu bwetwalina, bwagenda wa? Baabuteesako mu lukiiko busaanyizibwewo bagule amanda agafumba Mwalimu n'okukaaba n'okuyiwa omusaayi gwabakuumi b'obutonde Nnyaffe munyiivu My people, people of the land! Abazzukulu nabagamba ntya? People of the land! Abazzukulu nabagamba ntya? Kamese tambula, kamese tambula Omuti ogwali wano gwalaga wa? Kamese tambula, kamese tambula Oluzzi olwali wano lwalaga wa? Kamese tambula, kamese tambula Entobazi ezaali wano zalaga wa? Kamese tambula, kamese tambula Obuntu bulamu bwalga wa? Bulungi bwansi Era nze nawe tugende tukole Ow'enkumbi, ensuululu tuzijeyo Tugende tugogole Wolaba ekinnya, teeka w'omuti Tugende tulime Nkoba za mbogo zajja zokka mu bunnya, mu bunnya ohhhh Tugende tugogole ennyanja Enkera tulye ku kyenyanja Ebinyonyi bisigadde wa baaba Tweyambisenga engeri endala ezifumba
Writer(s): Kenneth Mugabi Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out