Lyrics

All man Remember that everything you believe You can achieve man Watch this Mbalabye bangi mu bulamu abatoba Abamu ne baggwamu amaanyi ne bakita Naye leero kambagambe amazima Bw'olemerako munnange omalako Kati twasalawo ffe kulumba nalo Nga twesiga Mukama Katonda Kubanga ne Dawudi yanyiga Goliyaasi Nga yesize Mukama Katonda Wadde ng'embeera ekaaye osobola Nkusaba toggwamu ssuubi osobola Manya Mukama waali osobola Osobola embeera yonna Eeh wadde ng'entiisa nnyingi osobola Nga Mukama waali osobola Kale no toggwamu maanyi osobola Osobola mu mbeera yonna Ggulawo amaaso otunule Kuba bw'ozibiriza ensi yo egenda Nsonga za ggwanga mujje Okumanya kwo kwe kuyamba abalala Ebikunyiga by'ebinnyiga tubikwase maanyi ebyo Twebereremu tetupowa Tukyuse embeera eno Naye nga osobola okukyusa embeera Wadde nga olowooza otuuse ku kisenge Osobola okulaba kw'ebyo bye waloota N'obituukako in your lifetime Kasita okola n'amaanyi n'olemerako Ebirala obikwase Katonda Jjukira abalemerako, be bamalako Enjogera eyo yaffe kuva dda Wadde ng'embeera ekaaye osobola Nkusaba toggwamu ssuubi osobola Manya Mukama waali osobola Osobola embeera yonna Eeh wadde ng'entiisa nnyingi osobola Nga Mukama waali osobola Kale no toggwamu maanyi osobola Osobola mu mbeera yonna Kati ggwe abadde alowooza nti ebintu bya balonde Leka nkubuuse ate Naawe abadde amanyi nti ebintu tebisoboka Example ye ffe Kati no tebakutiisa Tebakufiisa Tebakunyoomanga Naawe ebintu obiyinza Abali mu buyinza, tebakukanganga Wadde nga bajja na bitala bajja na lyanyi Ffe tuzze na Mukama Katonda Kuba ne Dawudi eyakuba Goliyaasi Yakwata bukwasi jjinja Ffe twava mu Ghetto kulumba nalo Nga twesize Mukama Katonda Kubanga ne Dawudi yakuba Goliyaasi Nga yesize Mukama Katonda Wadde ng'embeera ekaaye osobola Nkusaba toggwamu ssuubi osobola Manya Mukama waali osobola Osobola embeera yonna Eeh wadde ng'entiisa nnyingi osobola Nga Mukama waali osobola Kale no toggwamu maanyi osobola Osobola mu mbeera yonna Remember, everything is possible If only you believe You can achieve Hahaha Abo tebakulimba Abawoza tolumba Katonda talimba Manya ye Defender Abo tebakulimba Manya ba pretender Katonda talimba Manya ye Defender Abo tebakulimba Abawoza tolumba Katonda talimba Manya ye Defender Ne Dawudi yanyiga Goliyaasi Nga yesize Mukama Katonda
Writer(s): Bobi Wine Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out