Music Video

Featured In

Credits

COMPOSITION & LYRICS
Rowenah Birungi
Rowenah Birungi
Songwriter
PRODUCTION & ENGINEERING
Samuel Bisaso
Samuel Bisaso
Producer

Lyrics

Ddala ne'buuza oba nga Emiggo jebakukuba jokka jyali tejimala kumponya Na'magwa gebakufumita kumutwe omusaayi neguyiika Ddala byali tebimala... Oba kale engeli endala gyewandiyiseemu okumponya Etali eyo ejudde entiisa Hmm hmm hmm hmmm Etiisa gyenfuna nyingi nebwenkilowozaako bulowooza kinkaabya Kiyuza omutima gwange nga wadde wakikola nze mpone Ekifo nga kinene kyewatwaala Obwo obulumi tebulojeka Wetika obuzito bunene nnyo kulwange mpone Nga waguma taata Ekifo kyange kinene kyewatwaala Obwo obulumi tebugambika Wetikka omugugu munene nnyo kulwange mpone Nga waguma Ye wandowozaak'otya nze omukuusa (omukuusa Kyewunyisa okubanga nange ndi mwabo Bewasasila (bewasasila.) Aah aah aahh (aah aah aahh) Manyi no'kwetunulila nga nenyooma Nga ndaba kizibu okubanga wanunula Byona byalina kuba kunze naye wagaana (wagaana Otaase embilizi zange... Kisa na'baki ekyo ekitasosola Ekyalondola nange eyali tasanila... Ekifo nga kinene kyewatwaala (kyewatwaala Obw'obulumi tebulojeka Wetikka omugugu munene nnyo kulwange mpone Nga waguma taata Ekifo kyange kinene kyewatwaala Obw'obulumi tebugambika Wetikka omugugu munene nnyo kulwange mpone Nga waguma Emiggo jyandi maze oba kale bandi kugobye No'baviira no'genda ewala Oba engule yandi maze oba kale bandi sonyiye Nebasasila nebatayambula Naye wayagala oweeyo ekisingayo Gwali musaayi. omusaayi. omusaayi Ekifo nga kinene kyewatwaala Obw'obulumi tebulojeka Wetika obuzito bunene nnyo kulwange mpone Nga waguma taata Ekifo kyange kinene kyewatwaala Obulumi tebugambika Wetikka omugugu munene nnyo kulwange mpone Nga waguma
Writer(s): Rowenah Birungi Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out