Letra

Bw'eriba ekyuuse Oliyimba oluyimba (sure) Oh le le Oh le le Hullo hullo hullo Namu Hullo Yenze Mbaaya gwe wali omanyi Okuva ewa Muzeeyi Mupambanyi Eyatundanga bu namungodi Do you remember me? Yenze, kiki ng'olabika wesise? Manyi nakyukamu Nagejjamu ate ne mpanvuwamu Mukama yampaamu Ne nfunamu weebale kusaba Eyo Range Rover gy'olaba nno yange Ssi ya Bobi Ne ka print ako k'olaba kange Tokayita Barbie Manyi bazadde bo Nakukimako ewammwe bangobesa emiggo Ne banvuma obwa lucoolo, kyannuma Ne bannangira obwavu Ssi kirungi kunyooma ah Ensi eno ya Katonda Ebintu by'ensi bikyuka ah Bw'okasuula nze nkalonda Ssi kirungi kunyooma ah Ensi eno ya Katonda Ebintu by'ensi bikyuka ah Bw'okasuula nze nkalonda akasima Omukwano ssi siringi N'obwavu tebusiiwa ssi bulwadde Nali nkwagadde Ng'omutima ngukuwadde Ebyaddala, nali nkwagala nga byaddala Lwakuba saalina Kyannuma Namu okunsuba Mungu ne musaba oba olyawo alinsitula Kati nafuna gwe nina N'obuswazzi obutono Yenze oyo gw'owulira Owa Arcade ne zi kalina Mbaaya Ssi kirungi kunyooma ah Ensi eno ya Katonda Ebintu by'ensi bikyuka ah Bw'okasuula nze nkalonda Ssi kirungi kunyooma ah Ensi eno ya Katonda Ebintu by'ensi bikyuka ah Bw'okasuula nze nkalonda akasima Omuntu yenna ali eyo Ng'oli eyo baako ky'oyiga Ebintu by'ensi ekyuka Ekyuka ebibimba bikka Ku judginga ku judginga Eyo y'emu kw'ezo ensonga Ze twandirekedde Katonda Kuba y'amanyi ebisinga Bw'oba otegedde ensonga eno Kyusa mw'ezo embeera zo N'abaddako olibagamba Mutonzi yasinga okumanya Ojudginga ojudginga (Oh le le) Lwaki mutujudginga? Ssi kirungi kunyooma ah Ensi eno ya Katonda Ebintu by'ensi bikyuka ah Bw'okasuula nze nkalonda akasima Ojudginga ojudginga Lwaki mutujudginga? Buta Magical Ojudginga Banq Records Ojudginga Oh yeah Lwaki mutujudginga? Buta Magical, yeah Ojudginga Bad Kenzo yeah
Writer(s): Edrisah Musuuza Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out