Clip vidéo

Omutambuze
Regarder le vidéoclip de {trackName} par {artistName}

Crédits

INTERPRÉTATION
Joseph Segawa
Joseph Segawa
Interprète
COMPOSITION ET PAROLES
Joseph Segawa
Joseph Segawa
Paroles/Composition

Paroles

Buli mukadde gwomanyi akootakoota Teyali mukadde Lumu yali mulenzi Nabuli kinvinvi oyo gwolaba eyo Bebawala bokatindu edda abaliwo Okuva lwozaalibwa olina olugendo, lwotambula okutuusa lwodda jjova Obbuto obuvubuuka no'bukadde Gyemitendera mwetuyita okugenda Lwakuba okukadiwa kati kizibu Adam byeyalya kati bizibu Olunaku lwegulu wano luzibu okuluweza olulamba Ensi tuginogako kale makola, bulamu bwensi eno tebukyanyuma nyo Nze kyenava ntandika okuteekateka, mponye abalidawo emivuyo Tambulanga ng'Omanyi lumu oligenda, kunsi tuli bayiise era bagenyi Wano bisera bigere muntu wange Ttekatteka baleme okukwevumanga Tambulanga ng'Omanyi lumu oligenda, kunsi tuli bayiise era bagenyi Wano bisera bigere muntu wange Ttekatteka baleme okukwevumanga Wakusasirwa omuntu okwerowooza, nti alibawo ara teri kuvaawo Nti era obulamu bwe terri bukadde, affanana alpha omega eyabawo Buli bwebamugambako akole ekiramo Abalangira ddogo, nti era bo bamukyawa Ebya balidawo teri kumanya Wakusasirwa oyo bambi yetabidde Yoswa awo omuddu wa musa bweyali Bamu ttekera ttekera obusika Okuva bweyayingira ekintu teyadamu kumanya Bweyali avudewo amaze okugenda Byona byeyali akoze ebyekitalo Abalamuzi abatali bateeke teeke, byeyali akoze neba bifulafula Tambulanga ng'Omanyi lumu oligenda, kunsi tuli bayiise era bagenyi Wano bisera bigere muntu wange Tteka tteka baleme okukwevumanga Otiisatiisa abantu bokukyalo, lwakuba tokimyai nga bakukyawa Katonda namala akutta kaba kawedemu, olyejjusa amalala no'kujjooga Omulamuzi alamulila abawejjere Ssabalamuzi era tanyooma baanabe Nkusaaba omutye nga mwana wange Omusengamu ekitiibwa muntu wange Abantu olamusangako kale banna Lwolifa wakili abo balumwe Ofubanga notabera wakabi, attulugunya omunaffu Ensi twagisangawo tuli gileka Naye omukululo omulungi ogufangako Ofubangano nga noleka nga otesetese omusika nabalidawo nebaba mirembe Tambulanga ng'Omanyi lumu oligenda Kunsi tuli bayiise era bagenyi Wano bisera bigere muntu wange Tteka tteka baleme okukwevumanga
Writer(s): Joseph Segawa Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out