Testi

Aah Baby girl, eh! Davie Lutalo Kabissi ka ndagala Wonna tukanywa kawoomerera Honey manya ekibi nze bwe njagala N'okukola kulema ndebera Bwe nkulaba nga ndaluka Nga byonna bye nsiba biwandagala Omukwano gwo ddala ddagala N'okulya olumu emmere ssiyoya Alina omumwa ayogera Nze bw'ova wendi baby ndaluka Yadde nga beekaniikirira Teri akusinga honey ntunula, eh! Baby girl, wabula nkwagala ebya ddala aloo! Pretty girl, ye nga nalyoka ne nva mu kyalo Kati nno k'onkutte tonta Buli wamu we nninnya wookya Njagala kubeeranga wooba Ggwe angabira love empeweeza Tolekera bikole bw'otyo Sinnasanga bwezigoolo Eyali amanyi byonna birooto Nawona endwadde zo ku mwoyo Nze kanzikalire mu lyato Ndi mugumu alibonga bwongo Oba bayagala bakolime Omukwano gwaffe guli mu bire Ekinugu kibapika batulike Bayagala kusanga bisibe Nga tebamanyi na kumanya gye biyise Temutuwabula kati mutuleke Aah no no no no Bazungira bbongo Love yo entakula mu bwongo Omukwano nange mmuwa kkonko Ndi wano nesunga bu toto Yalungiwa akira kaliba k'emmondo Nze yanfuula na zonto Tuba waka nga twezannyira ttepo Ng'ampuusa ku ssupu w'empombo Bae, nkwagala bw'otyo ng'otibula Ng'okola byejo Ebibala by'omukwano nga nnyongera kkungula Ng'okola bw'otyo Tolekera bikole bw'otyo Sinnasanga bwezigoolo Eyali amanyi byonna birooto Nawona endwadde zo ku mwoyo Nze kanzikalire mu lyato Ndi mugumu alibonga bwongo Double Kick Yaled Namatira onsobola N'omutima gubuguumirira Love yo mazima tebowa Wakola ki okuntamya abalala? Nkizudde bwotapapa Ofuna birungi olya ku mpogola Beera ng'onjagala Ensulo z'omukwano nga ngogola Baby ssirikyuka Nkiggyira ddala mu nze munda Ababi emitwe bazimbya Tubeera era tuli wamu balimba Bazuŋŋana nga mpewo Bamanye balemesezza njolo, eh Bagaga nga nkoko Ffe tubakutule ebiwawaatiro, ah Tolekera bikole bw'otyo Sinnasanga bwezigoolo Eyali amanyi byonna birooto Nawona endwadde zo ku mwoyo Nze kanzikalire mu lyato Ndi mugumu alibonga bwongo Hmmm na na (Davie) Hmmm na na (he he he) Hmmm na na (Lutalo) Hmmm na na (he he he) Hmmm na na Hmmm na na
Writer(s): David Lutalo Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out