歌詞

(Nzigwawo lwa buwoomi) (Mmm, hmm) (Nessim Pan Production) Eka we nakulira tewaali basezi Twazannyanga kakebe nalya ku binazi Obukwansokwanso, mpafu, namungodi Kyova olaba nasoboka nakula bunoni Olujja lwali lugazi nga twayasa nazi Twakuba nga na dduulu, twali bapimi Nga taata musiibi ate maama musabi Ffe b'olaba Katonda yatukuuma bugubi Eka twali balunzi ate twali balimi Nga tusiiba ku mata tusula ku magi (yeah eh) Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi Obulungi bunnuma Mbuwulira ku nkoona, ku matu mbuwulira ne ku ttama Obulungi bunnuma Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi Obulungi bunnuma Mbuwulira ku nkoona, mu matu mbuwulira ne ku ttama Obulungi bunnuma Eh! Batupimisa ruler nga batutonda Twakulira ku mapeera na butunda Chai, wa kisubi anoze akajaaja Nga ssenga mutunzi y'atukuba ekikumba Nze gw'olaba mu budde bw'ekiro nga nnaaba gookya Nga twota ku muliro tuyanika ebikunta Twakulira wagimu ffe twabala Twalimanga n'emmwanyi nze nakabala Ebinyeebwa twabyanika nga tubisekula Twakulira ku muwogo z'ensusu ze twakola Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi Obulungi bunnuma Mbuwulira ku nkoona, ku matu mbuwulira ne ku ttama Obulungi bunnuma Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi Obulungi bunnuma Mbuwulira ku nkoona, mu matu mbuwulira ne ku ttama Obulungi bunnuma Kirinuma okukootakoota buno obulungi bwendiko, bwona bukadiwe Kirinnuma omukwano gwenyina omukwafu okukaddiwa Gwonna guyiike Baatuzaala ku Sunday lwali lweggulo Ng'ensi nzikakkamu nga balya kyeggulo Daddy fees yasasulanga mwaka Homework twakolanga lw'eggulo na maama Akazungu twasoma ke kano ke tufuuwa Swi-swi like Ssematimba Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi Obulungi bunnuma Mbuwulira ku nkoona, ku matu mbuwulira ne ku ttama Obulungi bunnuma Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi Obulungi bunnuma Mbuwulira ku nkoona, mu matu mbuwulira ne ku ttama Obulungi bunnuma Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi Obulungi bunnuma Mbuwulira ku nkoona, ku matu mbuwulira ne ku ttama Obulungi bunnuma Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi Obulungi bunnuma Mbuwulira ku nkoona, mu matu mbuwulira ne ku ttama Obulungi bunnuma
Writer(s): Julius Kakembo Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out