Lyrics

Njagala mwesigwa, amanyi omukwano Nga alabika bulungi asanyusa amaaso Atanswaze, mulage mubange Sigamba nti atukulidde ahah nedda! Atalina agamba, nga Juliana bwendi (eeh) Nkyanoonya Ndimulaba, luliba olwo Maama! Eryo essanyu Ndirifuna, kangyira nindako Nkyanoonya Ndimulaba, luliba olwo (luliba olwo) Obwomu buluma! Naye kale, tekigasa kupapa Njagala wampisa anampa nange ekitibwa Kuba nange, siri awo bwentyo Njagala mugezi anandanga nga ekitufu Njagala muntu nange anfako Ampembejje ansunte nange Obulungi bwange aleke okubujolonga Nkyamunoonya ah, aah-aah, aah-aah! (Uh uh!) Nkyamunoonya ah, aah-aah, aah-aah! (Uh uh!) Nkyanoonya Nze ndimulaba, luliba olwo Maama! Eryo essanyu Ndirifuna, kangyira nindako (kangyira nindako mulinze) Nkyanoonya Ndimulaba, luliba olwo (Nze ndimulaba) Obwomu buluma! (Obwomu buluma) Naye kale, tekigasa kupapa (Nze sijja kupapapa, no!) Njagala mwesimbu, ntya abayaye Nsaba mukama onyambeko okumufuna Omukakamu, atya Katonda Atapapira nsonga, akwata empola Sigamba nti nange ntukiridde, no no Njagala oyo anafuba okunjiga nze Nkyamunoonya ah, aah-aah, aah-aah! (Uh uh!) Nkyamunoonya ah, aah-aah, aah-aah! (Uh uh!) Nkyanoonya Nze ndimulaba, luliba olwo Maama! Eryo essanyu Ndirifuna, kangyira nindako (kangyira nindako) Nkyanoonya (oh-oh-oh-oh oh-oh-oh-oh) Ndimulaba, luliba olwo Obwomu buluma! (Obwomu buluma) Naye kale, tekigasa kupapa (sijja kupapapa, nedda!) Kaninde (kaninde) Nasangayo ansanira Kanoonye (kanoonye) Anandaga obwesigwa Kaninde (kaninde) Nze sipape era ngumye Kanoonye (kanoonye) Omulungi anansanira Kaninde (kaninde) Omulungi anansanira Kanoonye (kanoonye) (Hey yeah yeah yeah eh-eh eh ih) Kaninde, (ninze) (kaninde) Juliana sija kupapapa papapapa (ooh)
Writer(s): Juliana Kanyomozi Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out